1Mukama afuga, amawanga gakankane; atuula wakati wa bakerubi, ensi ekankane. 2Mukama mukulu mu Sayuuni; agulumizibwa mu mawanga gonna. 3Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa. Mukama mutukuvu. 4Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya. Onywezezza obwenkanya; era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya era bituufu. 5Mumugulumize Mukama Katonda waffe; mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye. Mukama mutukuvu. 6Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be; ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye; baasabanga Mukama n’abaanukula. 7Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire; baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa. 8Ayi Mukama Katonda waffe, wabaanukulanga; n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri, newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi. 9Mugulumizenga Mukama Katonda waffe, mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu, kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.