Zabbuli 128

Balina omukisa abatya Katonda; era abatambulira mu makubo ge. Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo; oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi. Mu nnyumba yo, mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo; abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni nga beetoolodde emmeeza yo. Bw’atyo bw’aweebwa emikisa omuntu atya Mukama. Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni, era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi ennaku zonna ez’obulamu bwo. Owangaale olabe abaana b’abaana bo! Emirembe gibeere mu Isirayiri.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

뉴스레터 구독

새로운 프로필과 행사, 플랫폼 소식을 받아 보세요.