Zabbuli 6

Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu; so tombonereza mu kiruyi kyo. Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu. Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi. Emmeeme yange ejjudde ennaku. Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe? Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange; omponye okufa olw’okwagala kwo okungi. Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa. Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe? Mpweddemu amaanyi olw’okusinda. Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange n’omutto ne gutoba. Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa, tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange. Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi; kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange. Mukama awulidde okwegayirira kwange, n’okusaba kwange akukkirizza. Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo; bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

뉴스레터 구독

새로운 프로필과 행사, 플랫폼 소식을 받아 보세요.