1Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda, n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango. 2Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda, owulirize ebigambo by’omu kamwa kange. 3Abantu be simanyi bannumba; abantu abalina ettima abatatya Katonda; bannoonya okunzita. 4Laba, Katonda ye mubeezi wange, Mukama ye mukuumi wange. 5Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize, obazikirize olw’obwesigwa bwo. 6Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire; ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama, kubanga ddungi. 7Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna; era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.