Zabbuli 99

Mukama afuga, amawanga gakankane; atuula wakati wa bakerubi, ensi ekankane. Mukama mukulu mu Sayuuni; agulumizibwa mu mawanga gonna. Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa. Mukama mutukuvu. Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya. Onywezezza obwenkanya; era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya era bituufu. Mumugulumize Mukama Katonda waffe; mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye. Mukama mutukuvu. Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be; ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye; baasabanga Mukama n’abaanukula. Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire; baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa. Ayi Mukama Katonda waffe, wabaanukulanga; n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri, newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi. Mugulumizenga Mukama Katonda waffe, mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu, kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

S'abonner à notre newsletter

Restez informé des nouveaux profils, événements et mises à jour de la plateforme.