Mutendereze Mukama! Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna, mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.Mukama by’akola bikulu; bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa, n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye, Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.Agabira abamutya emmere; era ajjukira endagaano ye buli kiseera.Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi; n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya; n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,manywevu emirembe gyonna; era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.Yanunula abantu be; n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna. Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu. Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.