Zabbuli 20

Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu. Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga. Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu; akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni. Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa, era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa. Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga, era atuukirizenga by’oteekateeka byonna. Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo, ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe. Mukama akuwenga byonna by’omusaba. Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta, amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo, ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu. Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi, naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe. Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo, naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu. Ayi Mukama, lokola kabaka, otwanukule bwe tukukoowoola.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

뉴스레터 구독

새로운 프로필과 행사, 플랫폼 소식을 받아 보세요.