Zabbuli 110

Mukama yagamba Mukama wange nti: “Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo ne mbassa wansi w’ebigere byo.” Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni; olifuga abalabe bo. Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo ng’ekiseera ky’olutalo kituuse. Abavubuka bo, nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu, balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya. Mukama yalayira, era tagenda kukijjulula, yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.” Mukama anaakulwaniriranga; bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi. Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza, n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna. Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo, n’addamu amaanyi ag’obuwanguzi.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

뉴스레터 구독

새로운 프로필과 행사, 플랫폼 소식을 받아 보세요.