Zabbuli 122

Nasanyuka bwe baŋŋamba nti, “Tugende mu nnyumba ya Mukama!” Ebigere byaffe biyimiridde mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi. Yerusaalemi yazimbibwa okuba ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu. Eyo ebika byonna gye biraga, ebika bya Mukama, okutendereza erinnya lya Mukama ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri. Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa; z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi. Musabirenga Yerusaalemi emirembe: “Abo abakwagala bafune ebirungi. Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo; n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.” Olwa baganda bange ne mikwano gyange nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.” Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

뉴스레터 구독

새로운 프로필과 행사, 플랫폼 소식을 받아 보세요.