Zabbuli 100

Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna. Muweereze Mukama n’essanyu; mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu. Mumanye nga Mukama ye Katonda; ye yatutonda, tuli babe, tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye. Muyingire mu miryango gye nga mwebaza, ne mu mpya ze n’okutendereza; mumwebaze mutendereze erinnya lye. Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera; n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

뉴스레터 구독

새로운 프로필과 행사, 플랫폼 소식을 받아 보세요.