Zabbuli 7

Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe: ngobaako bonna abangigganya era omponye, si kulwa nga bantagulataagula ng’empologoma ne bankutulakutula obufiififi ne watabaawo amponya. Ayi Mukama, Katonda wange, obanga nkoze kino, era ng’engalo zange ziriko omusango, obanga waliwo andaze ebirungi nze ne si muyisa bulungi, oba nzibye omulabe wange awatali nsonga: Kale, abalabe bange baleke bangoberere bankwate, bankube wansi banninnyirire, banzitire mu nfuufu. Golokoka, Ayi Mukama, mu busungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe. Golokoka, Ayi Katonda wange, onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya. Kuŋŋaanya bannaggwanga bonna okukwetooloola; obafuge ng’oli waggulu ennyo. Ggwe, Ayi Mukama, Ali Waggulu Ennyo, asalira amawanga gonna emisango, osale omusango gwange Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo ng’obutuukirivu bwange bwe buli, era n’amazima agali mu nze bwe gali. Ayi Katonda omutukuvu, akebera emitima n’emmeeme; okomye ebikolwa by’abakola ebibi: era onyweze abatuukirivu. Katonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange; alokola abo abalina omutima omulongoofu. Katonda mulamuzi wa mazima; era alaga ekiruyi kye buli lunaku. Mukama awagala ekitala kye n’aleega omutego gwe ogw’obusaale. Era ategese ebyokulwanyisa ebissi; era akozesa obusaale obw’omuliro. Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana, n’azaala obulimba. Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo; ate n’akigwamu ye kye yasimye. Emitawaana gye gimwebunguludde; n’obukambwe bwe bumuddire. Nneebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe; nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

뉴스레터 구독

새로운 프로필과 행사, 플랫폼 소식을 받아 보세요.