Zabbuli 54

Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda, n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango. Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda, owulirize ebigambo by’omu kamwa kange. Abantu be simanyi bannumba; abantu abalina ettima abatatya Katonda; bannoonya okunzita. Laba, Katonda ye mubeezi wange, Mukama ye mukuumi wange. Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize, obazikirize olw’obwesigwa bwo. Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire; ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama, kubanga ddungi. Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna; era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

Iscriviti alla nostra newsletter

Resta aggiornato su nuovi profili, eventi e novità della piattaforma.