1Nnyimusa amaaso gange eri ensozi, okubeerwa kwange kuva wa? 2Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, eyakola eggulu n’ensi. 3Taliganya kigere kyo kusagaasagana; oyo akukuuma taabongootenga. 4Laba, oyo akuuma Isirayiri taabongootenga so teyeebakenga. 5Mukama ye mukuumi wo; Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo; 6emisana enjuba teekwokyenga, wadde omwezi ekiro. 7Mukama anaakukuumanga mu buli kabi; anaalabiriranga obulamu bwo. 8Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda, okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.