Zabbuli 3

Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi! Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi! Bangi abanjogerako nti, “Katonda tagenda kumununula.” Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma; ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi. Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu. Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi, kubanga Mukama ye ampanirira. Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange abanneetoolodde, okunnumba. Golokoka, Ayi Mukama, ondokole Ayi Katonda wange okube abalabe bange bonna omenye oluba lw’abakola ebibi. Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama. Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

订阅我们的新闻通讯

及时了解新的资料页、活动与平台更新。