Zabbuli 121

Nnyimusa amaaso gange eri ensozi, okubeerwa kwange kuva wa? Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, eyakola eggulu n’ensi. Taliganya kigere kyo kusagaasagana; oyo akukuuma taabongootenga. Laba, oyo akuuma Isirayiri taabongootenga so teyeebakenga. Mukama ye mukuumi wo; Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo; emisana enjuba teekwokyenga, wadde omwezi ekiro. Mukama anaakukuumanga mu buli kabi; anaalabiriranga obulamu bwo. Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda, okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

S'abonner à notre newsletter

Restez informé des nouveaux profils, événements et mises à jour de la plateforme.