Zabbuli 120

Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku, era n’annyanukula. Omponye, Ayi Mukama, emimwa egy’obulimba, n’olulimi olw’obukuusa. Onooweebwa ki, era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa? Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira, n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa. Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki; nsula mu weema za Kedali! Ndudde nnyo mu bantu abakyawa eddembe. Nze njagala mirembe, naye bwe njogera bo baagala ntalo.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

订阅我们的新闻通讯

及时了解新的资料页、活动与平台更新。