Zabbuli 125

Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuni olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna. Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi, ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be, okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna. Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira mu nsi y’abatuukirivu, baleme okuwaliriza abatuukirivu okukola ebibi. Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofu bakolere ebirungi. Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu, Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu. Emirembe gibe ku Isirayiri.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

订阅我们的新闻通讯

及时了解新的资料页、活动与平台更新。