Zabbuli 43

Ayi Katonda, onnejjeereze omponye eggwanga eritatya Katonda ondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi. Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi. Lwaki ondese? Lwaki ŋŋenda nkaaba nga nnyigirizibwa omulabe? Kale tuma omusana gwo n’amazima binnuŋŋamye; bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, mu kifo mw’obeera. Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda, eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika. Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga, Ayi Katonda, Katonda wange. Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse munda yange? Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga, Omulokozi wange era Katonda wange.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

订阅我们的新闻通讯

及时了解新的资料页、活动与平台更新。