Zabbuli 149

Mutendereze Mukama! Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu. Isirayiri asanyukirenga eyamutonda; n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe! Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina, bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa. Kubanga Mukama asanyukira abantu be, n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi. Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino; bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu. Batenderezenga Katonda waabwe, bakwate ekitala eky’obwogi obubiri, bawoolere eggwanga, babonereze n’amawanga, bateeke bakabaka baago mu njegere, n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma, babasalire omusango ogwabawandiikirwa. Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna. Mutendereze Mukama.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

订阅我们的新闻通讯

及时了解新的资料页、活动与平台更新。