Zabbuli 46

Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe; omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku. Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga, ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja; amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago. Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda, kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo. Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera. Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya. Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa; ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka. Mukama ow’Eggye ali naffe, Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe. Mujje, mulabe Mukama by’akola, mulabe nga bw’afaafaaganya ensi. Y’akomya entalo mu nsi yonna; akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya; amagaali n’engabo abyokya omuliro. Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda. Nnaagulumizibwanga mu mawanga. Nnaagulumizibwanga mu nsi. Katonda ow’Eggye ali naffe; Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

订阅我们的新闻通讯

及时了解新的资料页、活动与平台更新。