1Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa. Mukama ayambadde ekitiibwa era yeesibye amaanyi. Ensi yanywezebwa; teyinza kunyeenyezebwa. 2Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda. Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe. 3Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama; ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo, n’amazzi g’ennyanja gayira. 4Mukama, Ali Waggulu Ennyo, oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi; oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja. 5Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu, n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo, ennaku zonna.