1Mulabe, mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama, abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama. 2Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu, mutendereze Mukama. 3Mukama eyakola eggulu n’ensi akuwe omukisa ng’asinziira mu Sayuuni.