Zabbuli 93

Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa. Mukama ayambadde ekitiibwa era yeesibye amaanyi. Ensi yanywezebwa; teyinza kunyeenyezebwa. Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda. Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe. Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama; ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo, n’amazzi g’ennyanja gayira. Mukama, Ali Waggulu Ennyo, oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi; oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja. Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu, n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo, ennaku zonna.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

Abonneer op onze nieuwsbrief

Blijf op de hoogte van nieuwe profielen, evenementen en platformupdates.