Zabbuli 96

Muyimbire Mukama oluyimba oluggya; muyimbire Mukama mmwe ensi yonna. Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye, mulangirire obulokozi bwe buli lukya. Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna, eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna. Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa; asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna. Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi; naye Mukama ye yakola eggulu. Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola; amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu. Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna; mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge. Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze. Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe. Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana. Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga. Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako; Mukama aliramula abantu mu bwenkanya. Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze; ennyanja eyire ne byonna ebigirimu. Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze; n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu. Kubanga Mukama ajja; ajja okusalira ensi omusango. Mukama aliramula ensi mu butuukirivu, n’abantu bonna abalamule mu mazima.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

ニュースレターを購読する

新しいプロフィール、催し、プラットフォームの更新情報をお届けします。