1Mutendereze Mukama, mmwe ensi zonna; mumugulumize, mmwe amawanga gonna. 2Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli; n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera. Mutendereze Mukama.