Zabbuli 138

Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna; ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza. Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu, ne ntendereza erinnya lyo olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo; kubanga wagulumiza ekigambo kyo n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna. Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula; n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange. Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama, nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko. Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama; kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene. Newaakubadde nga Mukama asukkulumye, naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala. Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu, naye ggwe okuuma obulamu bwange; ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe, era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya. Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde; kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna. Tolekulira ebyo bye watonda.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

Abonneer op onze nieuwsbrief

Blijf op de hoogte van nieuwe profielen, evenementen en platformupdates.