Zabbuli 23

Mukama ye Musumba wange, seetaagenga. Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto. Antwala awali amazzi amateefu. Akomyawo emmeeme yange. Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu olw’erinnya lye. Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange. Oluga lwo n’omuggo gwo bye binsanyusa. Onsosootolera emmere abalabe bange nga balaba; onsiize amafuta ku mutwe, ekikompe kyange kiyiwa. Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange ennaku zonna ez’obulamu bwange; nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama, ennaku zonna.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

Abonneer op onze nieuwsbrief

Blijf op de hoogte van nieuwe profielen, evenementen en platformupdates.