Zabbuli 82

Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu, ng’alamula bakatonda. Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa, nga musalira abanafu? Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya; abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya. Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye; mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi. Tebalina kye bamanyi, era tebategeera. Batambulira mu kizikiza; emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa. Njogedde nti, Muli bakatonda, era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo. “Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu; muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.” Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi; kubanga amawanga gonna gago.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

Iscriviti alla nostra newsletter

Resta aggiornato su nuovi profili, eventi e novità della piattaforma.