Zabbuli 133

Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa, abooluganda okubeera awamu nga batabaganye. Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni ne gakulukutira mu kirevu; gakulukutira mu kirevu kya Alooni, ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye. Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni, ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni; kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa n’obulamu emirembe gyonna.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

Assinar nossa newsletter

Mantenha-se a par dos novos perfis, eventos e novidades da plataforma.