Zabbuli 8

Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna! Ekitiibwa kyo kitenderezebwa okutuuka waggulu mu ggulu. Abaana abato n’abawere wabawa amaanyi okukutendereza; ne basirisa omulabe wo n’oyo ayagala okwesasuza. Bwe ntunuulira eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo, omwezi n’emmunyeenye bye watonda; omuntu kye ki ggwe okumujjukira, omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo? Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda; n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa. Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo: byonna wabissa wansi w’ebigere bye, ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko, n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ebyennyanja eby’omu nnyanja; era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja. Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

Subskrybuj nasz newsletter

Bądź na bieżąco z nowymi profilami, wydarzeniami i nowościami platformy.