Zabbuli 114

Isirayiri bwe yava mu Misiri, abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe; Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda, Isirayiri n’afuuka amatwale ge. Ennyanja bwe yabalaba n’edduka; Omugga Yoludaani ne gudda emabega. Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume, n’obusozi obutono ng’obuliga obuto. Ggwe ennyanja, lwaki wadduka? Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega? Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ng’endiga zisseddume, nammwe obusozi obutono ng’obuliga obuto? Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama, mu maaso ga Katonda wa Yakobo, eyafuula olwazi ekidiba eky’amazzi, n’olwazi olugumu n’aluggyamu ensulo ez’amazzi.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

Misoratra ao amin'ny gazety anay

Mahafantara hatrany ny mombamomba vaovao, ny hetsika ary ny fanavaozana ny sehatra.