Zabbuli 130

Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo. Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange; otege amatu go eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange. Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe, ani eyandiyimiridde mu maaso go? Naye osonyiwa; noolwekyo ossibwamu ekitiibwa. Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira era essuubi lyange liri mu kigambo kye. Emmeeme yange erindirira Mukama; mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya; okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya. Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama, kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo; era y’alina okununula okutuukiridde. Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya mu byonoono bye byonna.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

Tilaa uutiskirjeemme

Pysy ajan tasalla uusista profiileista, tapahtumista ja alustan uutisista.