Zabbuli 67

Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa, era otwakize amaaso go. Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi, n’obulokozi bwo mu mawanga gonna. Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga. Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu. Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya, n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi. Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga. Ensi erireeta amakungula gaayo; era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa. Katonda anaatuwanga omukisa; n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.

Baibuli (Luganda)

copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc — CC-BY-SA-4.0 — CC-BY-SA-4.0

الاشتراك في نشرتنا الإخبارية

ابقَ على اطلاع بالملفات الجديدة والفعاليات وتحديثات المنصة.